Proverbs 8

Amagezi Gakoowoola

1 aAmagezi tegakoowoolera waggulu,
n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
2Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,
mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
3 bku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,
ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
4Mmwe abantu, mmwe b’empita;
nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
5 cMmwe abatategeera mufune okutegeera;
nammwe abasirusiru mufune amagezi.
6Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,
era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
7 dAkamwa kange koogera bituufu byereere;
kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
8Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya
tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
9Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,
era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 eMu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,
era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 fkubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,
era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

12 gNze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 hOkutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
nkyawa amalala n’okwemanya,
n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 iOkuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
ntegeera era ndi wa buyinza.
15 jKu bwange, Magezi, bakabaka bafuga,
abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16Abalangira bafuga ku bwange,
n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 kNjagala abo abanjagala,
n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 lObugagga n’ekitiibwa biri mu nze,
obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 mEkibala kyange kisinga zaabu ennongoose,
n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,
mu kkubo ery’obwenkanya,
21 nn’abo abanjagala mbagaggawaza
era nzijuza amawanika gaabwe.

22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka
nga tannabaako kirala ky’akola.
23Nateekebwawo dda nnyo,
ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 oNateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,
nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 png’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,
nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 qnga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,
wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 rNaliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,
ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,
n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 sbwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,
amazzi galeme kusukka we yagalagira,
ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 tNnali naye ng’omukozi omukugu,
nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,
nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 unga nsanyukira mu nsi ye yonna,
era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.

32 vKale nno, batabani bange mumpulirize;
balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,
so temugalekanga.
34 wAlina omukisa omuntu ampuliriza,
alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange
buli lunaku.
35 xKubanga buli andaba afuna obulamu,
era afuna okuganja eri Mukama.
36 yOyo atannoonya yeerumya yekka,
era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.
Copyright information for LugEEEE